Zechariah 9:14-15


14 aEra Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15 b Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
Copyright information for LugEEEE